OWA NUP “EYAFA” E KYOTERA MU 2021 AZUUKIDDE – YETONDEDDE KASOLO.!

Nga bwebagamba nti nti ‘Katonda bwakwabulira nebwosala amagezi era ogenda’, embeera bweti bwerabikidde eri omubaka wa Kyotera Mpalanyi Lukwago kubanga kyenkana buli kyasiba kikutuka!

Mu 2021,okuwamba abantu kwawulikikira nnyo mu bitundu by’ekyotera naddala mu Kitundu kya Kyotera county, nga wano omubaka wa Kyotera aliko kati Lukwago Paul yali avuganya minisita w’ebyesimbi omubeezi Haruna Kyeyune Kasolo.

Mpalanyi Lukwago yavaayo nnyo okulumirizza Kasolo okuwamba abawagizi be era ekyaviirako ddala abantu okukyaawa minisita Ono. Wabula nga bwebagamba nti elyokanga netonya, oluvanyumma kizze kizuuka nti okuwamba abantu kuno ate kwakolebwa Mpalanyi mwenyini nga ayambibwako ab’ebyokwerinda asobole okufuna obuganzi mu Bantu.

Omu ku bantu eyayogeza ennyo abantu obwaama oluvanyumma lw’okuwambibwa ye Lukyamuzi Kiwanuka agambibwa okuwambibwa nga 8/01/2021, nga yasangibwa mu maka ge e Kyotera.

Kiwanuka ono nga 13/01/2021 yabikibwa nti yali afudde era olumbe nelukumwa nga kyategezebwa nti ne motoka ebadde eleeta omulambo yali ewambiddwa ab’ebyokwerinda nga balagiddwa Kasolo.

Wakati mu busungu, wamu n’enyiike banna Kyotera bagaana okuwa Kasolo akalulu nga bamunenya okuwamba n’okutta Kiwanuka.

Wabula okusinziira ku Kiwanuka eyazzemu okulabika nga mulamu, Mpalanyi Lukwago yamutukirira naamusaba bako omupango Kiwanuka awambibwe lwebajja okufuna obuganzi. Era yasubizibwa obukadde butaano.

Era agamba mpalanyi yasubiza okuwerezza abanamuwamba babeeko jebamutwaala nga buli kyayagala akifuna ekintu kyeyakirizza.

Wabula Kiwanuka agamba yeewunya ate okulaba nga abajja okumunoona beyali asubira okujja mu mirembe okujja ne mundu nebatandika n’okukuba amasasi. Nti mukutya okunji yakubira mpalanyi nga yemulugunya wabula yamutegeeza nga wewataali buzibu bwali buyinza kumutuukako era yatwalibwa mu kifo ekitategerekeka.

Kiwanuka anyonyola nti byeyalaba sibyeyali asubira kubanga yayisibwa ddala nga musibe ebbanga lyeyamala nga tewali muntu yamulambulako kabeere Mpalanyi okutuusa bwebamuyimbula nebatwaala ewa Mpalanyi nebamugamba “Mukama wo wuuyo”

Kiwanuka agamba ennaku zeyamala ewa Mpalanyi yali tamanyi nti yali yabikibwa dda era Mpalanyi yamunyonyola. Bwatyo kiwanuka yasaba Mpalanyi Ssente zebateesa wabula agamba yazimumma namukwaasa boodaboda eyamutuusa ewu jeyasanga nga matongo.

Annyonyola nti yasalawo akuume ekyaama nga Mpalanyi amusubizza okumusasula nga amaze okulayira kubanga yali awangudde. Wabula okuva Mpalanyi lweyayingira Palamenti yagaana okumusasula wadde okuddabirizza ennyumba ye eyayononebwa nga akwatibwa.

Bwotyo Kiwanuka yasazeewo yesonyiwe Mpalanyi era neyetondera Kasolo amusonyiwe kubanga yali tamanyi kyakola. Bino byonna yabyogeredde Lwankoni ku lwokutaano nga ali wamu ne Kasolo kati gwanonyeza akalulu.

Minister Kasolo yagambye ye talina buzibu ku kiwanuka era yamusonyiwa wabula navumirira ebikolwa bwebityo kubanga bisiga obukyaayi.

Bwetwagezezaako okwegerako ne Mpalanyi essimu ze yabadde tazikwata.

Kinajjukirwa nji Mpalanyi yazeemu okwesimbawo nga Kati yavudde mu DP nadda mu NUP, ate Kasolo yakwatidde NRM bbendera e Kyotera county.

 

Tags :

Recommended

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Eddoboozi logo



Copyright © 2025 Eddobooozi.