Ng’enakku ebula mbale okutuuka ku mazalibwa nga Ssebunywa, emisinde ejikulembera amaziribwa nga bulijjo jeyongeddemu ebbugumu, oluvanyuma lw’akulira wofiisi ya Ssentebe wa NRM, Hajjat Namyalo okugula obujoozi obuddukirwaamu bwa bukadde kumi na butaano.
Bwabadde ali mu bimuli bya Bulange, Namyalo asiimye beene olwa kawefune gwataddemu okulwanyisa mukenenya nga ayita mu nteekateeka ez’enjawulo. Namyalo ayongedde okuukutira abaavubuka abawala n’abalenzi okwongera okwekuuma awonno bwebajja okutuuka ku lyengedde nga balamu.
Katikiro Mayinga, mu ngeri ey’enjawulo asiimye President Museveni okuvaayo ennyo okulwanyisa mukenenya era nasiima ne Namyalo obuterabira bwa Kabaka bwe.
Namyalo agambye obujoozi buno agenda kubigabira abazzukulu abatalina Ssente naye nga bandyagadde okwetaba mu misinde gino.
Guno sigwemulundi ogusoose Namyalo okwetaba mu nteekateeka ez’enjawulo ez’obwakabaka nga kumpi buli mwaka akiika embuga.
