27/10/2026
Kyambogo – Kamp
Nga gavumenti yakavaayo okuwera Amanda, kajjampuni abalagadde mu bbwa ate amasanyalaze bwegafuuse ekizibu!
Akulira woofisi ya Ssente wa NRM ( ONC) Hajjat Hadijjah Namyalo akangudde ku ddoboozi nga ayagala enkola ekyuukemu.
Mu lukangaana lwa banamawulire lwaatuzizza ku woofisi ye e Kyambogo, Namyalo akolokose nnyo ekitongole kya UEDCL okulemererwa okutuusa obuwereza mu Bantu ekiviriddeko business okufa.
Namyalo agamba okuva UMEME bweyagenda UEDCL eremereddwa okiyunga amaka agawera emitwalo ana ku masanyalaze ate nga bano baasasula Ssente zaabwe. Era ayongerako nti okuva ako kwa masanyalaze buli saawa mu Uganda nga ate amawanga nga Kenya Uganda geewa amasanyalaze tegavaako kabonero ka bunafu nnyo.
Namyalo yebazizza pulezidenti Museveni olwokusima dam amasanyalaze wabula naamusaba alwanyise abakulira ebitongole ebigantambuza avafuuse ba ssemugayaavu.
Namyalo enakku zino yegulidde erinya olwokuvangayo nayogera ku nsonga abalala zebalabanga enzibu ennyo. Emabegako yavaayo nalumba abagaala okuwera Amanda nga agamba tebafudde ku banaku era nga yawagirwa nnyo omuntu wawansi.
Amawulire galanga nti Museveni kennyini yalagira Namyalo aveeyo akube tooki mu bitongole by a government nga Baalam ne Nameere bwebakwasagala gavumenti zebitundu.
