Laba Olutalo Lwa Nambooze Ne Bakaluba Olumaze Emyaka 25 Bweluyuzizzamu NUP Mu Mukono- Byampuna!!

16 Nteevu 2025

Nga eggwanga lyetegekera akalulu k’omukulembeze w’eggwanga wamu n’ababaka ba palamenti akagenda okubeerawo nga 15 gatonnya, 2026, e Mukono embiranyi yeyongedde ku kifo ky’omubaka wa palamenti owa Munisipaali ya Mukono.

Okuvuganya okwamanyi kuli wakati wa Revirandi Peter Bakaluba Mukasa nga yesimbyeewo ku bwa namunigina, Betty Nambooze Bakireke nga yaaliko kati, Muna NRM Dr Daisy Nabatanzi Ssonko, wamu n’omubaka omukyala akikirira Mukono kati Hanifah Nabukeera.

Kinajjukirwa nti Bakaluba ye Ssentebe wa District ya Mukono era Ku bbendera ya NUP nga kigambibwa nti okwesimba ku Nambooze yakikola oluvanyuma lwa Nambooze nga akozesesa obuyinza bwe nga Ssentebe wa NUP mu Mukono ne banywanyi be e Ku Kitebe kya NUP e Kavule okuli Muwanga Kivumbi bwebaava mu DP, okulemesa Bakaluba okufuna tikiti ya NUP okukomawo nga Ssentebe wa District naleeta munywanyi we bwebazirunda Muyanja Ssenyonga nga ono yasooka kusaba tikiti ya Mukono eyamaserengeya nga omubaka naye wabula nga yaweebwa yafunye ya Ssentebe wa District ekintu ekyewunyisa abantu abangi.

Wabula embiranyi ya Nambooze ne Bakaluba ssiya Jjo kubanga kinajukirwa nti bano bazze bagugulana ebbanga ddene okuviira ddala nga Nambooze akyaali mukwaasi wa Musolo, Bakaluba bweyamuvunaana okumusaba era naafuna enguzi ekyaviirako nambooze okusibwa mu Komera era olwavaayo Nambooze neyesimba ku Bakaluba ku bubaka bw’ektundu ekyo ekyaali kimanyiddwa nga ‘Mukono North’.

Bakaluba bweyawangula Nambooze, yaddukira mu kooti era kooti bwetyo nejja bakaluba mu palamenti nga alangibwa okugulirira abalonzi. Mu 2011 Bakaluba yeetegula Nambooze nagenda neyesimba mu Mukono eyamaserengeta era naawangula okudda mu bigere bya Hajjat Janat Mukwaya.

Wabula kirabika Nambooze ono teyasonyiwa Bakaluba kubanga ekisanja ekyaddako kigambibwa Nambooze yaperereza munywanyi we Muyanja Ssenyonga naasengukira mu Mukono eyamaserengeta okuva mu Munisipaali mweyali nga Meeya naagenda era naasigukulula Bakaluba mu Palamenti!

Mu 2021, Bakaluba ne Nambooze beesanga mu mbeera yeemu ey’okusoberwa oluvanyuma lw’omuyaga gw’ebyobufuzi ogwaali gweyoleka olw’okujja kwa NUP era bombi besanga Mu kibiina kimu- Nambooze yaweebwa tikiti ya Bubaka oluvanyuma lw’okuteesa ennyo nga abamu ku bali ku lusegere lwa Kyagulanyi baali bamulaba nga omuntu owenkwe olukuba yali yagaana okuwagira Kyagulanyi ku bubaka bwa bweyali yesimbyewo e Kyadondondo nga era bagamba yasaba ssente obukadde abiri okugenda okusabira Bobi wine akalulu ssente zebatamuwa era nagaana okubegattako ebiseera ebyo.

Olwaleero nga Bakaluba ye Ssentebe wa District buli muntu yandilowozezza nti NUP yalina okumwogera omukisa kubanga byakoze oyinza okumba birabikako bwogerageranya nebeyaddira mu bigere. Wabula ekisanja akimazeeko asika omugwa ne Nambooze nga Bakaluba agamba Nambooze ayagala yabeera afuga District nga amuwereza n’abakozi abatalina bisanyizo bafune emirimu ekintu Nambooze kyawakanya wabula alumiriza Bakaluba okudibaga akakiiko akagaba emirimu wamu n’okukuta ne NRM. Kunajjukirwa Bakaluba bweyawangula obwa Ssentebe yalonda omumyuka we nga wa NRM ekintu ekyanyiiza ennyo aba NUP era yagenda n’eKyankwazi aba NUP kyebalanga okubalyaamu olukwe.

Mu mbeera yeemu, Omubaka Hanifah Nabukeera okuva ekisanja kino wekyatandika abadde mu kusika muguwa na Nambooze oluvanyuma lwa Nabukeera okuvaayo nategeeza nti Nambooze ayagala kumutwalira mu nkwaawa ze nga agamba yeyamuleeta ekintu Nabukeera kyawakanya, era ne Nambooze nanenya Nabukeera okusigula abakozi be abaali bamukolera ennyo emirimu, wabula abalenzi abogerwako baavaayo nabategeeza nti baali bavudde ku Nambooze lwa bukodo nabutakuuma mikwano. Olutalo luno era kigambibwa lwelwaviriddeko Nabukeera okujibwaako tikiti ya NUP newebwa Sheilah Ananiyo owa PLU. Nabukeera kati naye yasazeewo yesimbe Ku Nambooze!

Amawulire okuva mu nsonda ezesigibwa galaga nti Nambooze ayongedde okunafuwa mu bantu nga bamulaba nga aludde ennyo ku bubaka ate nga bamulanga obutakuuma mikwano kubanga buli kisanja abeera nabantu bapya nga abakadde basowaganye. Ekirala bagamba ekiretedde Nambooze obuzibu kwekuba nga enteekateeka zonna ez’enkulakulana ezijja mu Mukono nga kwekuli n’enguudo empya eziri mu Kukolebwa kati azze azisimbira ekkuuli.

Kinajjukirwa nti Nambooze yaddukira mu palamenti ekisanja ekiwedde nassimbira ekkuulu okukola paaka ye Mukono nga agamba gavumenti yalina okuliyirira bananyi buyumba obuli ku paaka, oluvanyuma ekyazuulibwa nti obuyumba obusinga bubwe ne Muyanja Ssenyonga nga baabufuna nga beyambisa obuyinza bwabwe Muyanja Ssenyonga bweyabeerera Meeya wa Mukono ng’era Nambooze ye Mubaka

Embiranyi endala weeri kwekuba nti Nambooze ku kifo kya Meeya wa Mukono ate awagira Erisa Nkoyoyo wadde NUP yamumma bbendera nejiwa Robert Kabanda. Nambooze kino akikola kubanga Erisa avva mu Gombolola y’egoma nga Nambooze ayagalayo obululu okusinga okuwagira Kabanda bonna bwebava mu Kitundu ekimu. Kinajjukirwa nti Meeya Erisa naye yamibwa tikiti ya NUP nga alangibwa kugenda Kyankwazi nga Bakaluba. Amawulire galaga nti ne Kabanda Alina bbendera ya NUP ku bwa Meeya yasazewo awagire Bakaluba Mukasa kubanga ne Nambooze tamuwagira! Abatunirizi b’ebyobufuzi bagamba embeera eno yandileka Nambooze nga ennyindo ye nkata.

Nabatanzi akwatidde NRM bbendera

Ku ludda lwa NRM nayo sibirungi nnyo oluvanyuma lwa Andrew Ssenyonga eyawangulwa mu Kamyuufu ate okukomawo ku bwa Namunigina. Kino kireesewo embiranyi mu bawagizi ba NRM e Mukono nga buli omu ayogerera munne amafuukule. Abatunulizi bagamba ssinga NRM ebadde bumu ebadde esobola okukozesa omukisa gw’aboludda oluvanyuma okweyawulamu okuwangula Wabula kati abamu kubawagizi ba NRM bawagira Ssenyonga Andrew ekintu ekyawudde mu Kibiina.

Ku ludda olulala, DP nayo yaleese Kagimu George amanyikiddwa ennyo nga Festino. Ono naye tosobola kumugaya olw’omukululo gweyaleka bweyali meeya wa Mukono 2016-2021 nga yakola nnyo okutereeza ekibuga kya Mukono naddala okuggulawo amakubo agaali gazimbiddwaamu amayumba ku Mulembe gwa Muyanja Ssenyonga.

Embeera bwegenda nga bweeri wasubirwa okubeerawo okuvuganya okwamanyi naye nga emikisa gya Nambooze jirabika mitono  ddala newankubadde alina bbendera ya NUP.

Tags :

Recommended

One thought on “Laba Olutalo Lwa Nambooze Ne Bakaluba Olumaze Emyaka 25 Bweluyuzizzamu NUP Mu Mukono- Byampuna!!

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Eddoboozi logo



Copyright © 2025 Eddobooozi.