E Kyotera buli lukya ab’oludda oluvunganya byongera okubononekera. Sabiiti ewedde omubaka akwatidde NUP bbendera John Paul Mpalanyi yawalirizza okuyimirizzaamu okunonya akalulu oluvvanyuma lw’enkambi ye okugwaamu nabe, abasinga ku bakakuyege be okumuddukako nebadda ku Minister Kasolo nga buli wagenda abantu bamugoba.
Ebimu ku Banakyotera byebalanga Mpalanyi kwekunywanga nangangayira nga noluusi asula mu bbaala. “Kyewunyisa Omubaka Omulamba Okutamiira Nafuka mu Mpale, Kati kifanyi ki kyasiiga eri ffe baakulembera? ” Kisawuzi Bernard owe Kalagala, Kalisizo bweyewunyizza.
Omubaka Ono obuzibu obulala bwasanze kwekuba nti ab’oluganda be bangi baamuvaako kyokka nga nga bebadde bamuwa Ssente z’akalulu. Abamuli okumpi bagamba omubaka namafuta gamubula kubanga alina amabanja manji ate ne baganda be abamuwola Ssente mu 2021 yagaana okubasasula. “Tukeera wano e Kalisizo ku bbaala ye netulinda amafuta ge motoka y’ebidongo naye nga tewali, oluusi ba kansala bebasonda” Omu ku batambulira ku motoka y’ebidongo bweyagambye.
Tubadde tukyali ku ndiga kuwalampa nju ate embuzi neyasa entamu omu ku bababadde bakulira kampeyini za Mpalanyi Sheik Anwari Kaweesi bwavuddeyo nayasa ebyama oluvanyumma lw’okwawukuna ne Mpalanyi.
Kaweesi aleese obutambi nga Mpalanyi amugamba akole effujjo bwanakwatibwa bagenda kufuna obuganzi mu Bantu.
Ono era ajjeeyo bwiino bwategezezza nti munna NUP Ayayatikirira ennyo e Kyotera olw’okufa mu ngeri etategerekeka nti ate waayita mbale omubaka Mpalanyi neyeddiza namwandu we naamuzalamu n’omwana!
Bino webijjidde nga abavubuka bangi naddala e Kyotera bavuddeyo nebalumiriza Mpalanyi nti yagulanga abatemu batemule abantu abamuwagire awo nno bakisibe ku minisita Kasolo bwebali bavuganya era ddala kyabakolera nnyo.
Waliwo nomutuuze omulala amanyikiddwa nga kiwanuka ono kyagambibwa nti yawambibwa mbu era naabuzibwawo kyokka akalulu bwekaggwa yazuuka era nategeeza nti omubaka Mpalanyi yeyali yamukweeka kyokka byonna byebateesa okuli okuzimba ennyumba ye jebekubira bbo bennyini wamu nokumuwa ensimbi enkalu tebabikola. Ono yagenda neyetondera Kasolo era nakola me sitetimenti ku poliisi.
Kati abantu bangi bavuddeyo e Kyotera nga bagaala omubaka Ono Mpalanyi akwatibwe annyonyole kunfa ya Kayabula bwekiba nti yawasa mukazi we nga ati yali mukwano gwe.
Wabula bwotwogeddeko now’ebwokwerinda atayagadde kwatukirizza mannya ategezezza nti ebyaliwo byonna nga Kayabula attibwa biraga byalimu mikwano jje era nategeeza nga bwebagenda okuzukusa Fayiro nga besigama ku kya Mpalanyi okuwasa Namwandu balabe oba waaliwo ekobaane.
Wabula bwotwogeddeko n’omubaka Mpalanyi aganye okubaako kyayogera ku nsonga eno.
