Akabenje Ddekabusa; Abawerekera Bobi Wine Babiri Bafu!!

Leero kabadde kayisanyo e Mukono nga akwatidde NUP bbendera Kyagulanyi Ssentamu awenja akalulu mu bitundu ebyo.

Abantu bangi naddala abavubuka beyiye ku nguudo okumwaniriza wabula jebiggweredde nga mazinga.

Bobi wine yasoose kasawo mu Nakifuma North nga eno assabidde Kiwanuka Suleiman akalulu. Bwavudde awo agenze mu Mukono North nga nayo atambula ne Abuddallah Mulimamayuuni.

Wabula olukungaana lwa munisipaali ya Mukono Nambooze weyesimbye terwabaddeyo. Olukungaana luno lwabadde lutegekeddwa ku kisaawe e Ntaawo  naye Bobi wine tagenzeyo olw’obudde okumukwata.

Wabula jabyaggweredde nga maziga oluvanyuma lw’abawagizi ba Bobi wine babiri okufuna akabenje e Kiyunga, Mukono nebafiirawo nabalala nebaddusibwa mu ddwaliro nga embeera mbi.

Okusinziira kubaabaddewo bagamba akabanje Kano kavudde kubavubuka bano obubeera nga bavuga pikipiki ki supiidi ate nga tebalina Helmet.

Tags :

Recommended

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Eddoboozi logo



Copyright © 2025 Eddobooozi.