Eddoboozi – Eggandaalo
02 Musenene 2025
Bwebajja – Omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga z’obyobufuzi era akulira office ya Pulezidenti eye Kyambogo Hajjat Hadijjah Namyalo yetabye ku kukyala wamu ne Nikkah ya Nakimbugwe Rehemah ne Shafiq Mukasa okwabadde e Bwebajja, Entebbe.
Okukyala okwabadde mu maka ga bazadde ba Nakimbugwe, kwabadde makunale ng’entanda okuli ekibya olw’abanene abaakwetabyeeko wamu nebanna diini ab’enjawulo.
Mu kwogera kwe, Namyalo yayozayozezza abagole olw’ekkula ly’obufumbo era nabasaba okwagalana ennyo. Yabakutidde obugumikiriza wamu n’okweewa ekitiibwa nga kukuliri n’obugumikiriza.
“Obugumikiriza y’empagi okusimbibwa obufumbo, singa emenyeka n’obufumbo tewali, n’olwekyo mbasaba mubeere bagumikiriza era mwagalane nnyo” Namyalo bweyakutidde abagole.


Oluvanyuma abagole ababadde banekedde baagabudde abagenyi baabwe wakati mu buyimba obusenekerevu.
