Nga eggwanga lyetegekera akalulu k’omukulembeze we ggwanga wamu n’ababaka ba palamenti akagenda okubeerawo nga 15 January 2026, e Mukono embiranyi yeyongedde ku kifo ky’omubaka wa palamenti owa Munisipaali ya Mukono.
Okuvuganya okwamanyi kuli wakati wa Revirandi Peter Bakaluba Mukasa nga yesimbyeewo ku bwa namunigina, Betty Nambooze Bakireke nga yaaliko kati, Muna NRM Dr Daisy Nabatanzi Ssonko, wamu n’omubaka omukyala akikirira Mukono kati Hanifah Nabukeera.
Kinajjukirwa nti Bakaluba ye Ssentebe wa District ya Mukono era nga kigambibwa nti okwesimba ku Nambooze yakikola oluvanyuma lwa Nambooze nga akozesesa obuyinza bwe nga Ssentebe wa NUP mu Mukono okulemesa Bakaluba okufuna tikiti ya NUP okukomawo nga Ssentebe wa District naaleeta munywanyi we bwebazirunda Muyanja Ssenyonga era naweebwa tikiti ya NUP nga Ssentebe wa District ekintu ekyewunyisa abantu abangi.
Mu mbeera yeemu, Omubaka Hanifah Nabukeera okuva ekisanja kino wekyatandika abadde mu kusika muguwa na Nambooze oluvanyuma lwa Nabukeera okuvaayo nategeeza nti Nambooze ayagala kumutwalira mu nkwaawa ze, era ne Nambooze nanenya Nabukeera okumubbako omulenzi eyali amuyamba ennyo ku mirimu, wabula omulenzi ayogerwako yavaayo nategeeza nti yali avudde ku Nambooze lwa bukodo. Olutalo luno era kigambibwa lwelwaviriddeko Nabukeera okujibwaako tikiti ya NUP newebwa Sheilah Ananiyo owa PLU. Nabukeera kati naye yasazewo yesimbe Ku Nambooze.
Amawulire okuva mu nsonda ezesigibwa galaga nti Nambooze ayongedde okunafuwa mu bantu nga bamulaba nga aludde ennyo ku bubaka ate nga bamulanga obutakuuma mikwano. Ekirala ekiretedde Nambooze obuzibu kwekuba nga enteekateeka zonna ez’enkulakulana ezijja mu Mukono nga kwekuli n’enguudo empya eziri mu Kukolebwa kati azze azisimbira ekkuuli. Kinajjukirwa nti Nambooze yaddukira mu palamenti ekisanja ekiwedde nassimbira ekkuulu okukola paaka ye Mukono nga agamba gavumenti yalina okuliyirira bananyi buyumba obuli ku paaka oluvanyuma ekyazuulibwa nti obuyumba obusinga bubwe ne Muyanja Ssenyonga nga baabufuna nga beyambisa obuyinza bwabwe Muyanja Ssenyonga bweyabeerera Meeya wa Mukono ng’era Nambooze ye Mubaka
Embiranyi endala weeri kwekuba nti Nambooze ku kifo kya Meeya wa Mukono ate awagira Erisa Nkoyoyo wadde NUP yamumma bbendera nejiwa Robert Kabanda. Amawulire galaga nti ne Kabanda Alina bbendera ya NUP yasazewo awagire Bakaluba Mukasa kubanga ne Nambooze tamuwagira! Abatunirizi b’ebyobufuzi bagamba embeera eno yandileka Nambooze nga ennyindo ye nkata.
Ku ludda lwa NRM nayo sibirungi nnyo oluvanyuma lwa Andrew Ssenyonga eyawangulwa mu Kamyuufu ate okukomawo ku bwa Namunigina. Kino kireesewo embiranyi mu bawagizi ba NRM e Mukono nga buli omu ayogerera munne amafuukule. Abatunulizi bagamba ssinga NRM ebadde bumu ebadde esobola okukozesa omukisa gw’aboludda oluvanyuma okweyawulamu okuwangula.
Ku ludda olulala, DP nayo yaleese Kagimu George amanyikiddwa ennyo nga Festino. Ono naye tosobola kumugaya olw’omukululo gweyaleka bweyali meeya wa Mukono 2016-2021 nga yakola nnyo okutereeza ekibuga kya Mukono naddala okuggulawo amakubo agaali gazimbiddwaamu amayumba ku Mulembe gwa Muyanja Ssenyonga.
Embeera bwegenda nga bweeri wasubirwa okubeerawo okuvuganya okwamanyi naye nga emikisa gya Nambooze jirabika mitono ddala newankubadde alina bbendera ya NUP.
