Omubaka wa Kyotera Mpalanyi Paul aliira ku nsiko lwa kugezaako kutta muntu

Nga ennaku z’omwezi 23 ne 23 omwezi guno ogw’ekkumi, akakiiko k’ebyokulonda kaawandisizza abantu ab’egwaniza ebifo eby’enjawulo mu Palamenti.

Nga bintunda ebirala mu ggwanga, e Kyotera abantu ab’enjawulo baavuddeyo okuvaganya mu Ssaza lya Kyotera naye nga embiranye eyamanyi eri wakati wa muna NUP Hon Mpalanyi John Paul era nga yaliyo Kati wamu ne Minisita wa Micro finance era Omumyuka wa NRM mu Buganda Haruna Kyeyune Kasolo.

Oluvanyuma lw’okwewandiisa nga 23, Mpalanyi wamu ne Kasolo bombi baategeka enkungaana mu bifo eby’enjawulo – Mpalanyi yategeka Beteremu ate Kasolo yategeka ku kisaaawe e Kasabya, Kyotera.
Wabula nga tebanagenda mu bifo enkungaana wezaali, bombi baasoka kuyisa bivvulu. Kasolo yasalowo yetoolole mu byalo aggukire e Kyotera ewaali olukungaana.

Wabula eggulo lumu, ab’oludda lwa Mpalanyi baafulumya obutambi nga bewera nti Kasolo talina kulinnya Kalisizo era nebutekebwa ku mitimbagano ejenjawulo.

Kasolo wamu n’oluseregende lwe motoka ze webaatukira e Kalisizzo ewamanyiddwa nga ku bbibiro basanga abavubuka ba NUP nga ne Mpalanyi kwaali bazibye oluguudo nga bagamba Kasolo talina kuyitawo. Okusinzira ku Mwogezi wa Poliisi e Masaka Kasirye, Poliisi yatuukawo mu budde okutakiriza embeera naye nga Mpalanyi ayongera ku kuma mu bawagizi muliro nga abalagira okukuba aba poliisi era awo owa poliisi yakubwa ejjinja ku mutwe nga era Kati anyiga biwundu mu ddwaliro e Kalisizo.
Mu mbeera yeemu ababuka ba NUP abagambibwa okuva e Kamwokya baakuba buli eyali eyambadde esaati ya kyenvu era bangi kubo kati bapookya na biwundu.

Tebyakoma awo, oluvanyuma buli ludda lweyongerayo era Kasolo nangenda e Kyotera jeyakuba olukungaana ku kisaaawe kye Kasambya.

Wabula, olweggulo nga Kasolo amazze olungaana okwaali abantu abawerala ddala, ekibinja ky’abavubuka nga Kigambibwa Mpalanyi yeyabaleeta mu Mutoka ye baalumba abadongo abaali bategula ebyuuma okuva ki saawa kye Kasambya nebabafumutafumita ebifo oluvanyuma nebabinyikka mu nsuwa. Abaddukiriza bagamba bawulira okwaziraana era bagenda okutuuka nga abavubuka abaali bambadde ovolo za Mpalanya nga baddeku okuva ku kifo.

Poliisi yaggulawo omusango era wetwogerera nga abantu bana baamaze okusimbibwa mu maaso ga kooti nebasindikibwa ku Alimanda nga okunonyereza bwekugenda Mu maaso. Okusinzira ku Poliisi, omubaka Mpalanyi yayitiddwa ku poliisi naye akyaganye okugendayo wabula bajja mufuna annyonyole biki ebyaliwo.
Abali okumpi ne Mpalanyi betwogeddeko nabo bagamba ababikola Mpalanyi siyeyabatuma wabula ate waliwo obutambi obulabika nga Mpalanyi akunga abavubuka okukola offujjo.

Wabula betwogeddeko ne Minisita Kasolo agambye kituufu abawagizi ba NRM bangi baakubibwa n’okufumitibwa ebiso era naavumirira effujjo elyakolebwa naasaba poliisi erage obwenkanya.

Tags :

Recommended

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Eddoboozi logo



Copyright © 2025 Eddobooozi.