“Mukama Tabeerabiranga” Hajjat Namyalo Agumizza Abasibe Ekitalya Nga Abakwasa Futaali

Kinadde kijjobi mu komera e Kitalya, Hajjat Hadijah Namyalo okuva mu wofiisi ya Ssentebe wa NRM  bwabatwalidde amanzaali.

Okuva ekisiibo bwekyatandika Namyalo abadde atalaaga mu bitundu eby’enjawulo nga agabira abasiraamu ebintu omuli amata, omuceere, sukaali, butto nebirala mu nteekateeka yokuyambako mu kisiibo. Wabula olwaleero kibandde kya njawulo kubanga anatereke agasoba mu 500 gegagabiddwa.

E Kitalya Namyalo awerekeddwaako District Khadi wa Wakiso Erias Kigozi n’abakungu abalala. Okusinzira ku Hajat Namyalo, okulonda Kitalya kivudde ku mbeera nti emomera liri wala nga abagaba omuyambi balwawo okutukayo.

Abasibe wamu n’abakulira ekomera lino erimu ku gasinga obunene mu ggwanga bebazizza Hajjat Namyalo wamu ne President Museveni okubalowoozako mu kisiibo kino.

Namyalo era abasategezezza nti agenda kwongera okusaba President ayongere okuyimbula basibe abazeeyo ebbanga eddene nga ssibamisango minene nga bwatera okukola.

 

Tags :

Recommended

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Eddoboozi logo



Copyright © 2025 Eddobooozi.