Nga okulonda kwa pulezidenti wamu n’ababaka ba Palamenti kwengedde, ebibiina by’obufuzi eby’enjawulo biri mu ketalo okulaba nga bifuna obuwanguzi.
Ekubiina ekiri mu buyinza ekya NRM nakyo kyongeddemu amaanyi okunonya akalulu ka Pulezidenti Museveni nga olwaleero amalirizza ebbendobendo lya Bukedi, ngakati obuufu abwolekezza Busoga.
Mu ngeri yeemu Yafeesi ya Pulezidenti museveni evunanyizibwa ku byobufuzi ey’eKyambogo ekulemberwa Hajjat Hadijjah Namyalo ng’era yaali nsaale okusaba Mwami Museveni addemu yesimbewo wansi w’engombo “Omalako Jajja Tova Ku Main”, etongozza enteekateeka Ssejjoloola ey’okukuuma akalulu k’omuntu wabwe wamu n’ababaka bonna abakwatidde NRM bbendera.
Enteekateeka eno, Namyalo agamba bajikoze nga beyamvusa tekinologiya ow’omulembe nga bakolera wamu n’ekitongole ky’amaka g’omukulembeze w’eggwanga ekivunanyizibwa ku tekinologiya.
Okusinziira Ku Namyalo, omutimbagano guno gusoborela ddala bulungi okufuna obubaka obuva ku buli kyaalo mu butikitiki mpaawo webwaga era omutimbagano guno gugenda kweyambisibwa n’okulondoola enteekateeka za gavumenti oluvannyuma lw’okulonda.

Namyalo bino byonna yabinnyonnyodde abaamawulire beyayise e Kyambogo nga neba “Cordinator” ba wofiisi okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo bonna baabaddewo.Kinajjukirwa nti Mwami Museveni yavaayo nategeeza eggwanga nti ab’oludda oluvuganya bakwaata mu kalulu ka 2021 nebadda ne mukati nebewogoma era neyewera obutaddamu kukikirizza.
Oluvannyuma lw’enteekaka ya ONC ne Hajjat Namyalo okwanjulwa, bannayuganda balinze okulaba engeri okulonda jekunatambula nga n’aboludda oluvuganya balumiriza nti NRM erina enteekateeka z’okubba akalulu.
