Hajjat Hadijah Namyalo atongozza okusibulula abasiraamu- Atandikidde Mukono

Nga 18 omweezi guno, lwe lwabadde olunaku olusooka mu mweezi omutukuvu ogwa Ramadan. Nga gwe mweezi ogumanyiddwa nga ogusinga okubeera ogw’ekitiibwa mu busiraamu.

Nga bulijjo, wofiisi ya ssentebe wa NRM ey’ekyambogo okulemberwa Hajjat Hadijah Namyalo, ne kuluno etongozza okugabira abasiraamu ebyeyambisibwa mu kisiibo naddala ebyokulya, omuli obuwunga, Engano, Sukaali, Omuceere, Omunnyo, Butto nebirala bingo.

Olwaleero, Namyalo atandikidde Mukono nga emizikiti essatu jifunye ebintu. Atandikidde Kiwanga ku Masjid Ulama, nadda e Seeta ku Masjid Noor era namalira ku Masjid Atiik omuzikiti omukulu mu Twaale.

Mu kwogera kwe, Namyalo yebazizza abasiraamu olw’okulonda pulezidenti Museveni era nabategeeza nti saawa yonna agenda kuddayo abatwalire ebintu enabajja mu bwaavu. “Tosobola kubanja jootawola. Mbebaza okulonda Museveni Kati ekiddako kumubanja” Bwatyo Hajjat Namyalo bwategezezza. “Bino byensobodde okuleeta saawa eno nate tukyaleeta” Bwatyo byeyongeddeko. Namyalo era yakubirizza abakyalya okola ennyo baleme kujogebwa basajja.

Omwogezi wa ONC Kintu Moses ategezezza nti olunaku lwenkya enteekateeka eno yakugenda mu maaso nga bakutandikira Kasangati, badde e Nansana olwo basembeyo ne Kakiri.

Ssentebe wa Masji Atiik e Mukono, Hajji Were Juma asmiimya Namyalo era bategeeza nti obwetaavu bukyaali bungi bwatyo naamusaba ayongere okubasakira.

“Tubadde tetufunangako buyambi nga Buno okuva mu government era tuli basanyufu nnyo” Bwatyo omu ku bafunye ebintu bwagambye.

Tags :

Recommended

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Eddoboozi logo



Copyright © 2025 Eddobooozi.