Nga eggwanga lyetegekera akalulu k’omukulembeze we ggwanga wamu n’ababaka ba palamenti akagenda okubeera would nga 15 January 2026, e Mukono embiranyi yeyongedde ku kifo ky’omukaka wa palamenti owa Munisipaali ya Mukono.
Okuvanyuma okwamanyi kuli wakati wa Revirandi Peter Bakaluba Mukasa nga yesimbyeewo ku bwa namunigina, Betty Nambooze nga yaaliko kati, Muna NRM Dr Daisy Nabatanzi Ssonko, wamu n’omubaka omukyala akikirira Mukono kati Hanifah Nabukeera. Kinajjukirwa nti Bakaluba ye Ssentebe wa District ya Mukono era nga kigambibwa nti okwesimba ku Nambooze yakikola oluvanyuma lwa Nambooze nga akozesesa obuyinza bwe nga Ssentebe wa NUP mu Mukono okulemesa Bakaluba okufuna tikiti ya NUP okukomawo nga Ssentebe wa District naleeta munywanyi we bwebazirunda Muyanja Ssenyonga era naweebwa tikiti ya NUP nga Ssentebe wa District ekintu enyewunyisa abantu abangi.
Mu mbeera yeemu, Omubaka Hanifah Nabukeera okuva ekisanja kino wekyatandika abadde mu kusika muguwa na Nambooze oluvanyuma lwa Nabukeera okuvaayo nategeeza nti Nambooze ayagala kumutwalira mu nkwaawa ze, era Ne Nambooze nanenya Nabukeera okumubbako omulenzi eyali amuyamba ennyo ku mirimu, wabula omulenzi ayogerwako yavaayo nategeeza nti yavudde ku Nambooze lwa bukodo. Olutalo luno era kigambibwa lwelwaviriddeko Nabukeera okujibwaako tikiti ya NUP newebwa Sheilah Ananiyo owa PLU. Nabukeera kati naye yasazewo yesimbe Ku Nambooze.
Amawulire okuva mu nsonda ezesigibwa galaga nti Nambooze ayongedde okunafuwa mu bantu nga bamulaba nga aludde ennyo ku bubabaka ate nga bamulanga obutakuuma mukwano. Ekirala ekiretedde Nambooze obuzibu kwekuba nga enteekateeka zonna ez’enkulakulana ezijja mu Mukono nga kwekuli n’enguudo empya eziri mu Kukolebwa kati azze azisimbira ekkuuli. Kinajjukirwa nti Nambooze yaddukira mu parliament ekisanja ekiwedde nassimbira ekkuulu okukola paaka ye Mukono nga agamba gavumenti yalina okuliyirira bananyi buyumba obuli ku paaka oluvanyuma ekyazuulibwa nti obuyumba obusinga bubwe ne Muyanja Ssenyonga.
Embiranyi endala weeri kwekuba nti Nambooze ku kifo kya Mayor wa Mukono ate awagira Erisa Nkoyoyo wadde NUP yamumma bbendera nejiwa Robert Kabanda. Amawulire galaga nti Wadde ne Kabanda Alina bbendera ya NUP yasazewo awagire Bakaluba Mukasa kubanga ne Nambooze tamuwagira! Abatunirizi b’ebyobufuzi bagamba embeera eno yandileka Nambooze nga ennyindo ye nkata.
Ku ludda lwa NRM nayo sibirungi nnyo oluvanyuma lwa Andrew Ssenyonga eyawangulwa mu Kamyuufu ate okukomawo ku bwa Namunigina. Kino kireesewo embiranyi mu bawagizi ba NRM e Mukono nga buli omu ayogerera munne amafuukule. Abatunulizi bagamba ssinga NRM ebadde bumu ebadde esobola okukozesa omukisa gw’oboludda oluvanyuma okweyawulamu okuwangula.
Ku ludda olulala, DP nayo yaleese Kagimu George amanyikiddwa ennyo nga Festino. Ono naye tosobola kumugaya olw’omukululo gweyaleka bweyali meeya wa Mukono 2016-2021 nga yakola nnyo okutereeza ekibuga kya Mukono naddala okuggulawo amakubo agaali gazimbiddwaamu amayumba.
Embeera bwegenda nga bweeri wasubirwa okubeera okuvuganya ok’wamanyi naye nga emikisa jja Nambooze jirabika mitono ddala newankubadde alina bbendera ya NUP.
