Abasiraamu mu mizikiti ejenjawulo mu Wakiso basiibye mu masanyu nga akimezezza okwenjala, oluvanyumma lw’akulira wofiisi ya Ssentebe wa NRM Hajjat Hadijah Namyalo okubayiwamu Futaali.
Hajjat Namyalo atandikidde Kasangati ku muzikiti omukulu nga wano ayaniriziddwa District Khadi Sheik Erias Kigozi. Mu kwogera kwe, Kigozi ategezezza nti Namyalo yeyekka kumpi abasiraamu gwebarina mu gavumenti era naasaba pulezidenti Museveni amuleke mu wofiisi eyo.

Namyalo wavudde e Kasangati yeyongeddeyo e Nansana nga nayo abawadde ettu. Era nagenda n’ewakiso nayo naabagabira ebintu awonno nasembayo ne Kakiri ku muzikiti gwa Kikubampanga.
Yonna Hajjat Hadijah Namyalo jayitidde akutidde abasiraamu okukola ennyo, okukuuma emirembe wamu n’okutya mukama. Mu ngeri yeemu abasiimye okulonda Pulezidenti Museveni era naabasaba okwongera okuwagira gavumenti ya NRM.
