Akwatidde NUP Bbendera E Kyotera, Mpalanyi Lukwago Ayimirizza Okunonya Akalulu- Abantube Bamuvuddem; Bamulanga Kutamiira!

Okunonya akalulu k’omubaka anakikirira essaza lya Kyotera mu palamenti eddako kuzzeemu omukoosi oluvannyuma lw’akwatidde NUP bbendera John Paul Mpalanyi Lukwago okuyimiriza okuwenja akalulu.

Okusinziira ku nsonda ezesigika, Mpalanyi yategezezza bakakuyege be nti okusomozebwa kwasanze nga anonya akalulu abadde takusubira.

Kino kiddiridde Mpalanyi okutongoza kampeyini ze ku lwokuna nga 13, mu maduuka e Nsambya mu Gombolola ye Kalisizo wabula nasanga nga tewali bantu okujjako abaamuwerekeddeko okuva mu Kalisizo. Embeera eno era yalabise bweyabadde ava e Kalisizo okwolekera e Nsabya wabula nga buli wagezaako okuyimirira abuuze ku bantu nga agobwa nga mubbi. Embeera yeemu yazeemu okulabikira e Jongoza wenyini Mpalanyi wazaalwa bweyakubyeewo olukiiko wabula naafuna abantu kumi!

Okusinziira ku batuuze be Kyotera bagamba nti Omubaka Mpalanyi bukyanga bamulonda teyadda mu bantu, wadde okukola ku bizibu byabwe nga amasanyalaze, amazzi wamu n’enguudo embi. Abalala bagamba Omubaka Ono kampeyini ze azitambiliza kukuvuma nakuvoola mu kifo ky’okwogera byagenda okukolera abantu.
Era abamu bamulanga obuteewa kitiibwa n’okuswaza ekitundu kyabwe olw’okunywanga omwenge nasula nemubbaala nga oluusi bukya tamanyi jaali.

Okumanya ssibirungi eri omubaka Ono, abantu abaamunonyeza akalulu mu 2021 kumpi bonna baamusuddewo nga bagamba yabeerabira era wadde ba NUP bagenda kuwagira Kasolo owa NRM. Omu ku bano ye Sheik Anwar Kaweesi abadde mpagi Luwaga mu nkambi ya Mpalanyi nga kati yamusuddewo. Kaweesi agamba Mpalanyi talina Mukwano okuleka okukozesa abalala ye ayitewo ate tayinza kukolera muntu anywa nagangayira.

Ensonga endala, Mpalanyi ono ba Kansala bangi bagamba yabalemesa okufuma bbendera za NUP nebajja ku bwa namunigina kyokka banno bakyalina amaanyi era bagamba nabo balina omusasula.

“Tosoba kugamba nti Kasolo yakulemesezza okuleeta amasanyalaze nga watugamba baganda bo bakola mu UMEME” Nankinga Prossy omutuuze we Kakondo bweyatezezza.

Kinajjukirwa omubaka ono agamba abantu nti omu kubaavuganya nabo Kyeyuna Kasolo yamulemesa okukola emirimu ekintu abatuuze kyebawakanya ennyo.

Kitegerekese nti Mpalanyi asazeewo asooke ayimirize okunonya akalulu addemu azimbe tiimu bupya. Era Mpalanyi alanga omubaka omukyala wa Kyotera Nantongo obutamuwagira nga bonna ba NUP. Wabula kitegerekese nti Nantongo yasalawo atambule yekka oluvanyuma lw’okukizuula nti Mpalanyi abantu bamukooye ekintu ekyaali kiyinza okumwononera akalulu.

Nga okulonda kusembedde singa buli kimu kitambula bwekiti, NUP yandifiirwa ebifo bingi mu Buganda.

 

Tags :

Recommended

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Eddoboozi logo



Copyright © 2025 Eddobooozi.