Nga okunonya Akalulu kukute wansi ne waggulu, Hajjat Hadijjah Namyalo ng’ali wamu n’owobusobozi Bisaka bongedde amanyi mu kukunga.
Olwalero, Namyalo akyaddeko ewa Bisaka mu Tambiro lye ery’obukwenda bwa Kampala obusangibwa e Nsabya okwongera okunyweeza enkolagana.
Bisaka ng’embuga ye enkulu esangibwa Bunyoro amanyikiddwa nnyo mukuwagira Pulezidenti Museveni wamu ne NRM okutwaliza ewamu nga emirundi mingi abaamukiririzaamu balabibwaako nga beetaba ku mikolo gya NRM.
Okusinziira ku Hajjat Hadijjah Namyalo Okwegatta kwe ne Bisaka bagendereddemu kunyweeza nkolagana wamu n’obuwagizi bwa Mukulu Museveni.
